Song of Solomon 2

1 aNdi kimuli kya looza ekya Saloni,
Ekimuli kya Looza ekya Saloni kimera ekisangibwa mu nsenyi z’omu bukiikaddyo bwa Kalumeeri.

eddanga ery’omu biwonvu.
Owoomukwano

2Ng’eddanga mu maggwa,
gwe njagala ennyo bw’ali bw’atyo mu baweereza abakazi.
Omwagalwa

3 cNg’omucungwa mu miti egy’omu kibira,
aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka.
Neesiima okutuula mu kisiikirize kye,
n’ekibala kye kimpomera.
4 dYantwala ku kijjulo,
n’okwagala kwe ne ku mmaamira.
5 eMunzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu,
mumbuddeebudde n’emicungwa
kubanga okwagala kunzirisizza.
6 fOmukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange,
n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.
7 gMmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira,
ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa nga kweyagalidde.

8 hWuliriza omwagalwa wange,
Laba, ajja
ng’abuukirabuukira ku nsozi,
ng’azinira ku busozi.
9 iOmwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento.
Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe,
Alingiza mu madirisa,
alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
10Omwagalwa wange yaŋŋamba nti,
“Golokoka, Owoomukwano,
omulungi wange, ojje tugende,
11kubanga laba ttoggo aweddeko,
n’enkuba eweddeyo.
12Ebimuli bimulisizza,
n’ebiro eby’okuyimba bituuse,
era n’okukaaba kw’amayiba
kuwulirwa mu nsi.
13 jOmutiini
Emitiini mu Isirayiri gibala emirundi ebiri mu mwaka. Amakungula agasinga galingawo mu biseera ebya ttoggo
gubala ettiini zaagwo,
n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.
Golokoka Owoomukwano,
omulungi wange ojje tugende.”
Owoomukwano

14 lGgwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi,
mu bwekwekero obw’amayinja,
ndaga amaaso go,
ka mpulire eddoboozi lyo,
kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo,
n’amaaso go gasanyusa.
15 mTukwatire ebibe,
obube obutono,
obwonoona ennimiro ez’emizabbibu,
kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza.
Omwagalwa

16 nMuganzi wange, wange nzekka, era nange ndi wuwe;
aliisiza ekisibo kye mu malanga,
17 ookutuusa obudde nga bukedde
n’ebisiikirize nga biddukidde ddala;
okyuke omwagalwa wange obe ng’empeewo
oba ennangaazi ento ku busozi obw’e Beseri.
Copyright information for LugEEEE